Bwanjulula-Ttoonzi Ekkubo Ery'obunnajjere

Bwanjulula-Ttoonzi   Ekkubo Ery'obunnajjere
Item# IP2349
$30.00

by Ggugulo-Zzingu-Zziringula

ABOUT THE BOOK

Ekitabo kino Bwanjulula-Ttoonzi Ekkubo Ly'obunnajjere Erya Bassebikuuno Abatuukirivu kikwaatira ddala ku Kkubo ly'Abatuukirivu Abalamu abajja ku nsi mu buli mulembe nga bazze ng'Abanunuzi b'emyoyo naddala egyo egyambadde ebbala ery'obwomuntu. Kye kitabo ekisookedde ddala okunnyonnyola akawonvu n'akagga eri buli yenna atandika obutandisi okunoonya okuyiga, okumanya n'okutegeera engigiriza za Bassebikuuno ne Bannabikuuno abatatera kumanyika mu bantu abasinga obungi ku nsi kuno. Kittottola obulamu, ekigendererwa ky'okuzaalibwa ng'omuntu ku nsi, amakulu g'okufa, biki Omutendeke by'afuna mu kutendekebwa kuno era biki by'asinza atali mutendeke wa Kkubo lya Butuukirivu n'amasomo amalala mangi. Kyogera ku Bahindani-Mbalakativamu-Kkuulo mu byaama ebikusike nga y'enneekulungula y'emyoyo nga gigenda gyeserenga mu bitonde ebya buli ngeri okuviira ddala wansi eri mu bbumba oba ettaka, mu byuuma, mu mayinja ag'omuwendo, mu njazi, mu bimera, mu biwuka, mu binyonyi, mu byewalula, mu byennyanja ne mu bisolo okujja ate okufuna akakisa akatafunika okuzaalibwa ng'omuntu.

ABOUT THE AUTHOR

Ggugulo-Zziingu-Zziringula atukoledde omulimu munene nnyo mu kutuwandiikira ekitabo kino nga akiggya mw'ebyo by'ayigidde ku Bigere Ebitukuvu eby'Omununuzi w'Omwoyo gwe okuviira ddala mu mwaka gwa 1981 lwe yabukala e Sseesamirembe mu Bbanguliro-Katibu ly'Ebyomwoyo eriyigiriza Sayansi oba Kaliisoliiso w'Obutuukirivu. Ggugulo-Zzingu Zziringula musajja mufumbo alina n'abaana.

(2009, paperback, 362 pages)

Accessories

Bwanjulula-Ttoonzi   Ekkubo Ery'obunnajjere [E-book edition]
Bwanjulula-Ttoonzi Ekkubo Ery'obunnajjere [E-book edition]
This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper!

NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE
$25.00
IP2349ebook
Share |