BUWALAKATA-NKALABBI Ssisimula-Bulangwa Bulikya Enjuba Egolooba

BUWALAKATA-NKALABBI  Ssisimula-Bulangwa Bulikya Enjuba Egolooba
Item# IP2721
$32.00

by HIG-Bambi-Baaba-Baabuwee

ABOUT THE BOOK

Buwalakata-Nkalabbi Ssisimula Bulangwa Bulikya Enjuba Egolooba ky'ekiwandiiko eky'olwaatu kisomwe abantu wonna mu mawanga ne mu nsi yonna Omutuukirivu era Omutangaavu Omulamu katetwe mu lunyiriri lw'Abatangaavu Ssaabaganzi Ssaabayimiransibo Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee ky'awandiikidde Akakiiko Akanoonyereza ku Sserulanda Nsulo Yobulamu Spiritual Foundation nga azira Akakiiko ako era nga yeerayirira nga bw'atajja kugenda eri Bannakakiiko akataliiko wadde abantu abasatu Abatuukirivu ddala Abatangaavu kawewa. Mu kiwandiiko kino Ssaabayimiransibo Omulamu awandiikidde President wa Uganda Yoweri K. Museveni ebbaluwa entongole ng'amutegeeza nga bw'azize Akakiiko ke yateekawo era ng'ensonga zonna kw'asinzidde okuzira Akakiiko ako akakulirwa Prof. Nelson Ssewankambo azitadde mu kiwandiiko kino, ekirisigala mu byafaayo by'olukalu lw'Africa n'ensi yonna. Abantu b'oku nsi balemenga kutwaala bya Butuukirivu ng'ebyolubalaato ate ng'Obutuukirivu y'ensonga eyannamaddala etuleeta ng'emyoyo okuzaalibwa ku nsi nga gyambadde ebbala ery'obwomuntu. Bambi Baaba Baabuwee yeeyabangawo Sserulanda.

ABOUT THE AUTHOR

Ebikwata ku muwandiisi bisange munda.

(2009, paperback, 399 pages)

Share |