Home >
Non-Fiction > Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu?
Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu?

by Dr. Bhuka-Bijumiro-Jjumiro
Ow'Ekitiibwa Ekitaliseebengerera Bambi Baaba Baabuwee, ye Muddugavu yekka mu Uganda ne mu Africa ayogerwako ng'Omuntu Omuzaale Omutuukirivu Omulamu Sserukoonoka(Living Perfect Born-Saint). Bangi beebuuza ebimufaako; abamu nti akwaata emisambwa, nti agoba emizimu, abalala nti mulogo, n'abangi nti wamma ddala musajja Mutuukirivu Katetwe! Ekitabo kino kikuwa mu bufunze ebitono ennyo ebikwata ku muntu Ono atali mwangu wa kusanga mu nsi muno. Kyoleka Ebitone Ebitukuvu by'Alina, ne kiraga ebimu ku byewuunyo n'ebyamagero by'akoze era n'ebimu ku bigambo n'ebikolwa bye ebyoleka nti yandibeera Omutuukirivu era Ssaabanunuzi w'Emyoyo Nnakabala. Ggwe abadde yeebuuza ebimukwatako, ofunye ebbona ly'Ekitabo ky'otojja kusanga walala mu kiseera kino ate nga kiwandiikiddwa omuntu aludde naye ng'Amunoonyerezaako.
About the Author
Dr. Bhuka Bijumiro-Jjumiro azaalibwa Katiko-Naama, Mityana mu ttwaale ly'e Mubende. Ye mutabani w'Omugenzi Hajj Muhammad Mayanja e Katiko ne Hajat Bukirwa Mukuuma. Amaze emyaka mingi ng'anoonyereza ebifa ku Bambi Baaba Baabuwee. Awandiise ebitabo bingi ebikwata ku ngigiriza z'Abatuukirivu.
(2008, paperback, 448 pages)
Accessories
![Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu? [E-book edition] Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu? [E-book edition]](http://ep.yimg.com/ca/I/yhst-17523450422633_2214_65428907) | Bukukkuliro-bwa-Nkukkiro - Ddala Bambi Baaba Baabuwee Muntu Mutuukirivu? [E-book edition] This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper! NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE$30.00 |
|