Ansitu-Kkozimo Ekitabo Ekisooka

by Omuwandiisi Atamanyiddwa
Ansitu-Kkozimo ye kaliisoliiso ow'amagezi agakwaata ku mwoyo n'engeri omwoyo gye gusitulwamu okuva mu nnawookeera w'enkulungo y'okufa n'okuzaalibwa ne gulinnya mu bwengula bwa kkozimo ezisangibwa mu lwebeeya lw'embaalebaale n'emyanjo (spiritual planes) egitali gimu okutuusa omwoyo lwe gwebbika mu bumu ne Mukama Sseggulumanda olwo ne gubeera nga guwangudde Engule ey'Obutuukirivu nga guyita mu kyama ky'obuweereza. Okuwangula engule y'Obutuukirivu kitegeeza okutuuka ku ddaala ery'okwetaaya wonna mu Butonzi kunsi ne mu myanjo gy'Obutonzi gyonna egimanyiddwa n'egitamanyiddwa, n'obeera nga weetaayiza wonna awatali akukuba ku mukono mu nsi ezitaliiko kkomo nga toliddayo kuzaalibwa ku nkulungo ya kufa na kuzaalibwa okuggyako nga odda okuweereza ebitonde n'abatonde abalala ng'Omununuzi w'emyoyo. Mu kudda okw'engeri eyo okomawo ku nsi ng'oli Mutuukirivu ddala kawewa. Ansitu kkozimo ge magezi agatuusa omuntu okumanya ebyama by'Obutonzi n'eby'Obutuukirivu omuntu n'aba nga takyakugirwa ku nsi ne mu myanjo gw'amagulu aga buli ngeri ate ng'ali bumu mu buyinza ne mu maanyi Amatukuvu aga Mukama Sseggulu-manda. Gano era ge magezi agatuusa omwoyo oba omuntu yenna okwang'anga okuyiga n'okussa mu nkola obumanyi obumutuusa ku ddala ly'obutafa n'obutanyagwa.
ABOUT THE AUTHOR
Omuwandiisi ono Atamanyiddwa atukoledde omulimu munene okugunjula abaana baffe abalondemu mu Byama by'Ekkubo ly'Abatuukirivu ku mulembe guno. Tumusaba atuwandiikireyo n'ebitabo ebirala bingi.
(2010, paperback, 362 pages)
Accessories
![Ansitu-Kkozimo Ekitabo Ekisooka [E-book edition] Ansitu-Kkozimo Ekitabo Ekisooka [E-book edition]](http://ep.yimg.com/ca/I/yhst-17523450422633_2208_115411932) | Ansitu-Kkozimo Ekitabo Ekisooka [E-book edition] This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper! NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE$25.00 |
|