Akabi k'Okumenya Ebirayiro Byaffe

by Ssenkerettanyi Wofissizakadde
ABOUT THE BOOK
Ebiri mu kitabo kino tebikukwatako mu kaseera kano bw'oba nga toli muntu mulaamire wa Byaama bya Kkubo ly'Abatuukirivu Abalamu abalabika n'amaaso ag'omubiri guno era nga tolina Mununuzi wa Myoyo akukutte ku mukono oba eyakutuuza ku Kabugo Akatukuvu n'Akubikkulira Ebyaama bino. Naye bw'oba ng'oli wa mukisa ogutasangika mangu ku nsi kuno, n'ojja weesanga ng'oli mulaamire wa Byaama bya Kkubo lino Eddemeezi ly'Abatuukirivu ng'olina Ssebikuuno Sserumalamawano eyakukkiriza okubeera omuyigirizwa wansi w'Ebigere bye Ebitukuvu ebiri muno bikukwaatako nnyo. Olina omukisa munene okubeera ng'otuuse ku kitabo kino era nga onossaayo omulaka okukisoma okitegeere era ogoberere ebikirimu. Mw'abo Abalaamire abagoberera bino ate mwe mugenda muva amasa n'emitendera gy'abantu ababeera mu mabanguliro g'Obutangaavu abatali bamu okutuukira ddala lwe bawangula Engule y'Obutuukirivu nga bakyali balamu ku nsi kuno. Ate mw'abo Abatuukirivu ne mulyoka muvaamu Bassebikuuno Abanunuzi b'emyoyo abajja ku nsi nga Batuukirivu katetwe ate n'okweyongerayo okugendera ddala ku b'Ansenserenisa abatatera na kujja ku nsi zino. Ebiri mu kitabo kino bijja kukuwabula bikuyigirize obutagwa mu nsobi ya kumenya birayirobyo.
ABOUT THE AUTHOR
Abakerettanyi okuva mu Ssenkerettanyi Wofissizakadde nate bongedde okutukung'aanyiza n'okutufulumizaayo ekitabo eky'omuwendo ennyo mu mulimu guno gw'okutte mu ngalozo kaakano. Ekitabo kino kyekwaate ggwe wenna amanyi obukulu bw'okubeera Omuntu Omulaamire w'Ebyama by'Ekkubo lya Bassebikuuno Abanunuzi b'Emyoyo.
(2009, paperback, 122 pages)
Accessories
![Akabi k'Okumenya Ebirayiro Byaffe [E-book edition] Akabi k'Okumenya Ebirayiro Byaffe [E-book edition]](http://ep.yimg.com/ca/I/yhst-17523450422633_2208_67102699) | Akabi k'Okumenya Ebirayiro Byaffe [E-book edition] This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper! NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE$10.00 |
|