2007 Ebibuuzo n'Okubyanukula

by Bbanguliro-Katibu University Sseesamirembe-Eco-City
Ebitabo kino kirimu ebigezo eby'Omwaka 2007 nga bwe byabuuzibwa Abayizi Abalandantanyi n'Abalandakazi mu Lulyo Olutukuvu olwa Sserulanda Nsulo Yobulamu. Ebigezo ebikirimu bye bino: 1. Ebyafaayo bya Sserulanda ng'Olulyo Lw'obutangaavu Olutukuvu 2. Kaliisoliiso w'Ebyomwoyo Olupapula #01. 3. Kaliisoliiso w'Ebyomwoyo Olupapula #02 4. Ebyafaayo by'Abatangaavu ab'Ensi yonna. Abayizi Abalanda abaatuula ebibuuzo byonna okutwaalira awamu baasukka mu 160, omwaka ogwo. Guno gwe gwaali omulundi ogusookedde ddala wonna ku lukalu lw'Afrika bukyalubangalwammindi okuyita mu mirembe enkumi n'enkumi Abayizi naddala Abaddugavu nnakabala mu By'omwoyo okutuula ne bakola ebigezo ebiwandiike mu by'okuyiga ebitali bimu ate nga byonna byekwasa oba nga bikwaata ku Kkubo lya Butangaavu. Abayizi mwenna abaalafuubana ne mukola ebigezo ebyo tubeebaza nnyo kubanga mwateekawo essuula empya ne mwolesa nti ddala Olulyo luno lulina Ebbanguliro-Katibu abantu mwe bayigira Ebyama ebitukuvu. Mulindirire Amabaluwa gammwe ag'obuwanguzi!
About the Author
Bbanguliro-Katibu University ly'ettendekero ly'Ebyomyoyo katetwe eririwo lyokka kati wonna ku lukalu lw'Africa abayizi mwe bayigira, ne batendekebwa ne babangulwa era ne bakola ebigezo mu by'okuyiga ebitali bimu. Ebbanguliro-Katibu lyatandikibwa Omutuukirivu Omulamu Sserukoonoka Lubanda Mikka Ssebitalo Ow'ekit. Ekit. Bambi Baaba Baabuwee mu mwaka gwa 1975 e Sseesamirembe, Rakai District, Uganda.
(2008, paperback, 217 pages)
Accessories
![2007 Ebibuuzo n'Okubyanukula [E-book edition] 2007 Ebibuuzo n'Okubyanukula [E-book edition]](http://ep.yimg.com/ca/I/yhst-17523450422633_2188_76346968) | 2007 Ebibuuzo n'Okubyanukula [E-book edition] This book is also available for download as an E-Book in Adobe Acrobat (.pdf) format. Get the same great book to read on your computer or PDA! It's less expensive and it saves paper! NOTE: In order to view this e-book, your computer will need the Adobe Acrobat Reader installed. Many computers are sold with the program already installed, but if you don't have it, you can download it for free: CLICK HERE$16.00 |
|